Isaaya 52:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)“Kaakano kiki ate kye ndaba wano?
“Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere
era abo ababafuga babasekerera,”
bw’ayogera Mukama.
“Erinnya lyange
livvoolebwa olunaku lwonna.
Ezeekyeri 36:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)“Kale nno gamba ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Ggwe ennyumba ya Isirayiri bino sibikola ku lulwo, naye ku lw’erinnya lyange ettukuvu lye mwavumisa mu mawanga gye mwagenda.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.